EKIWANDIIKO EKY'ABANTU BONNA EKIFA KU DDEMBE LY'OBUNTO
EBYANJURA
Ekitiibwa ky'omuntu eky'obutonde; okwenkanankana, wamu n'obuyinza obutayinza kugyibwawo
ebyabantu bonna, gwe musingi gw'eddembe; obwenkanya n'emirembe mu nsi.
Obanga abantu sibakikozesa kujeema 'ngeky' okulwanyisa ekisembayo, okwetaasa obufuzi
obukambwe okutulugunya, kyetaagisa eddembe ly'obuntu okuba nga lifugibwa amateeka.
Ekibiina ky'amawanga amagatte, mu kiwandiiko kyakyo kikakasa nga bwekikkiririza mu
ddembe ly'obuntu era ne mu kittibwa n'omuwendo gw'omuntu era kimaliridde okukubiriza
abantu okugenda mu maaso n'okulwanyisa omutindo gw'embeera y'obulamu bwabwe mu ddembe
erisingawo.
Amawanga g'amemba geeyamye okukolaganira awamu n'ekibiina ky'Amawanga Amagattere mu
kukubiriza abantu abali okussamu ekitiibwa n'okukuuma eddembe ly'obuntu n'emisingi gyalyo.
Okutegeera obulungi obuyinza (rughts) n'eddembe ly'obuntu kikulu nnyo mu kutuukiriza
obweyamo obwo mubujjuvu.
Olwekyo, Olukiiko ttabamiruka (General Assembly) olw'amawanga Amagatte, iulangirira
Ekirangiriro EKIFUGA EDDEMBE LY'ABANTU BONNA WONNA MU NSI.
Abantu bonna abali wonna olw'okubeera ne'kiruubirirwa ekimu eky'amawanga gonna,
basaanye bulijjo okujjukiranga EKIRANGIRIRO kino, wamu n'okulafuubana okuyigiriza,
okugunjula n'okukubiriza abantu okussaamu ekitiibwa eddembe ly'obuntu, okutangaaza
amateeka gaalyo n'okugakuuma, mu bantu abali mu bitundu ebiri mu buyinza bwabwe.
Ekitundu 1.
Abantu bazaalibwa nga balina eddembe n'obuyinza ebyenkanankana, batondebwa nga balina
amagezi era nga basobola okwawula ekirungi n'ekibi bwebatyo, buli omu agwana okuyisa munne
nga muganda we.
Ekitundu 2.
Buli muntu agwana afune eddembe eryo gerwako mu KIWANDIIKO kino awatali kusolola kwona
okw'engeri yonna okuyinza okusinziira ku:- ggwanga, langi y'olususu okuba omusajja oba
mukazi, olulimi, eddini endowooza ye ku by'obufuzi oba ekintu ekirala ensi oba abantu
mwasibuka, ebintu byalina obuzaale bwe oba ensonga endala yonna.
Ekitundu 3.
Buli muntu ateekwa okubeerawo nga mulamu nga yegazaanya awatali kutaataganyizibwa mu
ngeri yonna.
Ekitundu 4.
Tewali muntu assanidde kufugibwa buddu, obuddu n'obusuubuzi bw'abaddu tebukirizibwa mu
nsi.
Ekitundu 5.
Tewali muntu asanidde, kutulugunnyizibwa okubonerezebwa oba okuyisibwa mu ngeri eteri
ya buntu emutyoboola.
Ekitundu 6.
Buli muntu amateeka gateekwa okumubala era n'okumuyisa ng'omuntu buli wantu wonna.
Ekitundu 7.
Abantu bonna benkanankana mu maaso g'amateeka era bateekwa okukuumibwa amateeka awatali
kusosola. Abantu bonna bateekwa kukumibwa kyenkanyi eri obusosoze obufutyanka EKIWANDIIKO
kino oba obubawaliirizza okusosola mu ngeri eyo.
Ekitundu 8.
Buli muntu ateekwa okukkirizibwa okutwala ensonga ze mu mbuga entuufu ez'eggwanga
zikolebweko singa nga eddembe lyerimuweebwa mu Constitution ne mu mateeka liba
lijolongeddwa.
Ekitundu 9.
Tewali muntu anakwatibwanga oba okusibibwanga oba okusibibwa oba okuwangangusibwa mu
ngeri etegoberera mateeka.
Ekitundu 10.
Buli muntu awatali kusosola, ateekwa okuwozesebwa mu lwatu ate mu bwenkanya mu kooti
eyeemala era eterina kyekubira, bwabanga annonya okukakasa onuyinza obumuweebwa mu mateeka
singa waliwo omusango ogumenya amateeka ogumuvunaanibwa.
Ekitundu 11.
- Buli muntu yenna avunaanibwa omusango oguliko ekibonerezo ateekwa okubalibwa nga taliiko
musango okutuusa nga kikakasibbwanti ddala yaguzza okusinziira mu mateeka era ateekwa
okuwozesebwa mu kooti mu lwatu nga aweereddwa na buli mukisa gwonna okwetaasa.
- Tewali muntu n'omu anabalibwanga nga azzizza omusango ogumubonerezesa, kino nga
kisinzira kukikolwa kye yakola oba kyatakola, mu kiseera ekyemabega, kyokka nga mu kiseera
ekyo ekikolwa kyeyakola oba kyeyalemwa okukola kyali tekittekwa kumubonerezesa,
okusinziira mu mateeka g'eggwanga eryo oba ag'amawanga amalala Bwanabanga ateekwa
okubonerezebwa mu kiseera weyazziza omusango ogwo.
Ekitundu 12.
Eddembe ly'omuntu yenna eyo gyabera amaka ge era n'ebbaluwa ze tebitaataganyizzibwe nga
oba okwazibwa mu ngeri etegoberera mateeka, so n'erinnya lye teriweebuulwenga oba
okulebulwa. Buli muntu ateekwa okukuumibwa amateeka aleme kutaataaganyizibwa oba
okulumbibwa mu ngeri eyo.
Ekitundu 13.
- Buli muntu alina eddembe okugenda oba okusula wonna wayagala, munda w'ensalo ez'eggwanga
lye.
- Buli muntu wa ddembe okufuluma okuva mu ggwanga lyona, kino nga kitwaliramu n'eggwanga
lye, wamu n'okudda mu ggwanga lye.
Ekitundu 14.
Omuntu ayigganyizibwa waddembe okunoonya obubudamo mu ggwanga eddala era n'okusanyukira
mu bubudamo obwo.
Ekitundu 15.
- Buli muntu ateekwa okufuna eggwanga ettongole gyabalirwa ng'omutuuze.
- Tewali muntu yenna anagyibwangako obutuuza bw'eggwanga lye wadde okugaanibwa okukyusa
obutuuze bwe okubugya mu ggwanga erimu okubuuza mu ddala.
Ekitundu 16.
- Omusajja oba omukazi omukulu atuuse okwesalirawo, taakomerwenga mu ngeri yenna obutawasa
oba okufumbirirwa n'okuzaala abaana, olw'olulyo mwasibuka, olw'eggwanga lye oba lwe'eddini
ye. Omusajja n'Omukazi balina onuyinza n'eddembe ebyenkanankana nga tebannafumbiriganwa,
oba nga bafumbiriganiddwa oba oluvannyuma lw'obufumbo bwabwe okusattululwa.
- Amaka gwe musingi gw'eggwanga ogw'obuwangwa olwekyo abantu ne gavumenti basaanye
okugakuuma obutiribiri.
Eitundu 17.
- Buli muntu waddembe okwefunira ebintu bye kululwe oba nga yeetabye ne n'abantu abalala.
- Tewali muntu yenna anaggyibwangako ebintu bye mu ngeri etagoberera matteka.
Ekitundu 18.
Buli muntu alina eddembe ery'okwerowooleza okwawula ekirungi n'ekibi n'okulondawo
eddini gyanasoma. Eddembe lino lizingiramu obuyinza okukyusa eddini oba enzikiriza ye,
n'obuyinza obubwe ku lulwe oba wamu n'abantu abalala, mu lwatu oba mu kyama, okwolesa
eddini oba enzikiriza ye, ngayigiriza oba ngateeka mu nkola eddini ye byemulagira, nga
asinza oba ngakuuma byemugamba.
Ekitundu 19.
Buli muntu wa ddembe okubeera n'endowooza ye era n'okwogera oba okuwandiika nga
bwalowooza. Eddembe lino lizingiramu n'ebeetu ery'okugugubira ku ndowooza ye awatali
kitaattaagaayizibwa, okusaka okufuna wamu n'okusaasaanya amawulire n'ebirowoozo okuyita mu
mikutu gyonnna watali kukomerwa.
Ekitundu 20.
- Buli muntu ayinza okwetaba mu nkugaana ez'eddembe wamu n'abantu abalala.
- Tewali n'omu anakakibwanga okwetaba mu nkunganaa awamu n'abantu abalala.
Ekitundu 21.
- Buli muntu waddembe okwetaba mu nfuga y'eggwenga lye.
- Buli muntu alina obuyinza obwenkanankana n'obw'omulala obumusobozesa okutuukirira
ebitongole bya gavumenti y'ensi ye ebiweereza abantu bonna awatali kukugirwa.
Ekitundu 22.
Buli muntu wa ggwanga alina obuyinza okutuula ne bantu banne ngatebenkedde mu ddembe.
Kino kimusobozese okutuuka ku biruubirirwa eby'ekitiibwa by'obuntun'okulongongoosa empisa
ze, okuyita mu kukola kw'eggwanga lye oba okukolagana n'awamanga nga amalala, okusinziira
ku nteekateeka n'enkozesa 'obugagga bwe'eggwanga mu by'enfuna, ey'embeera z'abantu
n'eby'obuwangwa ebitayinza kwewalika mu kukulakulana kuno.
Ekitundu 23.
- Buli muntu alina eddembe n'obuyinza okukola. Ateekwa okwerondera ekika ky'omulimu
ekimuggyamu era ekirina embeera emusobozesa okukola obulungi, wamu n'okukirizibwa oba
okuyambibwa singa omulimu ogwo gumuweddeko.
- Buli mukozi ateekwa okussasulwa empeera entuufu emuggyamu, emusobozesa ye yennyini
n'abantu ab'amaka ge okweyimirizawo nga abantu balamu. Bwekiba kyetagisa empeera y'omukozi
eyinza okwongerezebwako ensako endala ezimusobozesa okwetaasa ebyo ebimugwako ng'omuntu
nga tabyetegekedde.
Ekitundu 24.
Buli muntu ateekwa okuwummula n'okuweera. Asaana akole essawa zakigero buli lunaku era
abeere n'ekiseera eky'okwewummuzaamu buli mwaka, kyokka nga empeera ye ey'ekiseera ekyo
emuweebwa.
Ekitundu 25.
- Buli muntu ateekwa okubeera n'omutindo gw'obulamu ogumusobozesa okubeerawo nga mulamu
bulungi mu mubiri , ye yennyini n'abantu abamakage, ng'afuna emmere, ebyambalo, ennyumba
n'okujjanjabwa singa alwadde era nga asobola okweyambisa ebyo gavumenti y'eggwanga lye
by'ekolera abantu baayo okusitula embeera y'obulamu bwabe. (Social Services). Buli muntu,
asaana okuyambibwa aleme kweralikirira bwaba nga omulimu gumuweddeko, oba afuuse
kateyaamba oba afuuse Ssemwandu oba Nnamwandu oba ngatuusibbwa mu mbeera etemusobozesa
kufuna nsiimbi kyokka nga kino siyakyeretedde yekka.
- Abakyala abazadde wamu n'abaana bateekwa okulabirirwa n'okuyambibwa mu ngeri
ey'enjawulo. Abaana bonna oba bazadde baabwe bafumbo mu mateeka oba si bafumbo bagwana
okulabirirwa kyenkanyi nga abantu.
Ekitundu 26.
- Buli muntu ateekwa okuyigirizibwa. Okuyigizibwa kunabanga kwa bwerere mu myaka egisooka
ne mu masomero agasookerwamu. Okuyigirizibwa okusookerwako kunabanga kwa buwaze. Amasomero
agayigiriza eby'emikonono n'emirimu egy'ekikugu ganaateekebwangawo, era buli muntu alina
ebisannizo n'obusobozi anaweebwanga omukisa okusomera mu magunjukiro agawaggulu.
- Ebyenjigiliza binaluubiriranga okugunjula abantu muby'amagezi n'empisa nga biteeka
essira ku kusaamu ekitiibwa eddembe ly'obuntu n'emisingi gyalyo. Binakubirizanga
okuteegeeragana okw'abantu ab'ensi n'eddini ez'enjawulo; era binakolaganiranga wamu
n'ekibiina ky'Amawanga Amagatte mu kuleetawo emirembe mu baantu.
Ekitundu 27.
- Buli muntu waddembe okwetaba mu by'obuwangwa ebyensiye era n'okusanyukira ebikolebwa
abalina amagezi oba ebitone ebyobuwangwa, n'okugabana ku miganyulo egivudde mukukulakulana
kwa sayansi.
- Buli muntu agwanidde okutaasibwa okuva mu kabi akayinza okutuuka ku mpisa ze oba kwebyo
ebimusanyusa mu nsi, kino nga kisinziira ku magezi aga sayansi ebitabo ebibi oba
ebifaananyi eby'ekigwenyufu ebiba bikoledwa abaantu.
Ekitundu 28.
Embeera y'abantu ab'eggwanga lye oba ab'omumawanga amalala ng'esobozesa omuntu okufuna
eddembe ly'obuntu nga bwe liwandiikiddwa mu KIRAGIRO kino.
Ekitundu 29.
- Buli muntu alina obuvunanyizibwa eri abantu b'ensi ye, kubanga bano bokka abamusobozesa
okukikukulanya mumpisa ne mungeri endala zonna.
- Omuntu nga akaayanira eddembe lye ery'obuntu ekinamukolangako kyokka ge mateeka ago
agateekebwawo okunyweza, okutongoza wamu n'okusaamu ekitiibwa eddembe ly'abalala
n'okukuuma empisa ennungi mu bwenkanya oba okukuuma eddembe lya bonna oba amateeka ago
ogakuuma obulungi bwa abantu bonna ab'eggwanga eriddukanyizibwa ku demokolasi.
Ekitundu 30.
Tewali nsonga yonna mu KIRANGIRIRO kino enetapoutibwanga mu ngeri etegeeza nti ewa
ebbeetu abantu b'eggwanga oba ekibinja ky' abantu okwenyigira oba okwetaba mu kikolwa
kyonna ekigenderera okuzikiriza eddembe ly'obuntu eriwandiikiddwa mu KIRANGIRIRO kino.